skip to Main Content

EKIRANGO KY’OLUKALE OLUNAKU: LWAKUBIRI, NGA 31 OMWEZI OGWOKUSATU 2026

OKULABULA KU NKOZESA Y’EMIKUTU GY’EMPULIZIGANYA EMBI

Ekitongole ekilungamya eby’empuliziganya mu ggwanga (Uganda Communications Commission) kyagala okubategeeza ku nkozesa ey’obuvunaanyizibwa ey’emikutu gy’empuliziganya, okusinziira ku mbeera eliwo mu kiseera kino.

Tukimanyi nti Kkooti Etaputa Amateeka (Constitutional Court) yasazaamu ebitundu ebimu, mu tteeka lya Computer Misuse (Amendment) Act, 2022. Okuva enkyukakyuka eyo bweyalangibwa, wabaddewo alipoota ezilaga nti enkozesa embi ey’emikutu gya social media n’emikutu emirala egyokumutimbagano yeyongedde. Kirabika nti abantu abamu bategeera bubi nti tewakyaliwo tteeka lirungamya nkozesa ya kompyuta n’emikutu gy’okumutimbagano mu Uganda. Twagala okukakasa nti kino si kituufu.

Wadde nga Kkooti yasazaamu ebitundu mu tteeka lino—nga mwe muli ebikwata ku kuyingirira emikutu gy’abalala mu ngeri emenya amateeka (unauthorised access), okukuma mu bantu obukyaayi (hate speech), okuweereza obubaka obutetaagisa oba obw’obulabe, n’okukozesa obubi emikutu gya social media—ebitundu ebirala bingi eby’etteeka lya Computer Misuse Act byasigala bikyakola.

Muno mulimu amateeka agavunaana:
• Okutyoboola eddembe ly’abalala ku mutimbagano (cyber harassment),
• okugobelera n’okutiisatiisa abalala ku mutimbagano (cyber stalking),
• n’obufere obukolebwa nga bweyambisa emikutu (electronic fraud).

Mu ngeli y’emu, wadde ebitundu ebimu ebikwata ku kutyoboola elinnya ly’omuntu (libel) mu tteeka lya Penal Code byasazibwamu, ebitundu ebirala eby’etteeka lino bikyakola.
Okugatta ku ekyo, amateeka amalala—omuli Uganda Communications Act, Data Protection and Privacy Act, ne Children’s Act—gakyakola mu kufuga enkozesa y’emikutu gy’empuliziganya n’okukuuma eddembe ly’abantu.

N’olwekyo, tukubiriza abantu bonna okukozesa emikutu gyokumutimbagano n’obuvunanyizibwa. Tukozese Tekinologiya okutumbula embeera zaffe ez’ebyenfuna n’ez’obulamu, so si kulumya balala, kutyoboola ddembe lyabwe, oba okutaataaganya emirembe n’obutebenkevu bw’eggwanga lyaffe.

Era tukubiriza abantu bonna okuloopa enkozesa yonna embi ey’emikutu gy’empuliziganya eri ekitongole kya Uganda Communications Commission oba eri Poliisi ya Uganda.
Tulwanire wamu okulaba nti emikutu gyaffe egyokumutimbagano gibeera gyeyagaza, gya kitiibwa, era mitebenkevu eri buli omu.

Back To Top
Skip to content